Exodus 27:10-18

10n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.

12“Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi. 13Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi. 14Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu, 15ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.

16“Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya. 17Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo. 18Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo.
Copyright information for LugEEEE